2 Samuel 22:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awa kabaka we obuwanguzi obw'amaanyi; agirira ekisa omusiige we, Dawudi n'ezzadde lye emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi, era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda ye awa kabaka obuwanguzi; era amukwatirwa ekisa, oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi, n'ezzadde lye emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda gw'awadde obwakabaka, amuwa obuwanguzi obw'amaanyi. Akwatirwa ekisa omusiige we Dawudi, n'ezzadde lye emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awa kabaka we obulokozi obunene: Era amukola eby'ekisa ekingi oyo gwe yafukako amafuta, Dawudi n'ezzadde lye emirembe gyonna.