2 Samuel 22:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku yange nakoowoola Omukama, ne mpanjagira Katonda wange. Yayima mu Kiggwa kye n'awulira eddoboozi lyange; okuwanjaga kwange ne kutuuka ku matu ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; nakoowoola Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye; n’okukaaba kwange kwamutuukako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe nnalaba ennaku ne nkaabira Mukama, Weewaawo, n'akaabira Katonda wange. N'awulira eddoboozi lyange ng'ayima mu Yeekaalu ye, Okukaaba kwange ne kutuuka mu matu ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu buyinike bwange nakoowoola Mukama, ne mpita Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange, n'awuliriza okukaaba kwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe nnalaba ennaku ne nkaabira Mukama, Weewaawo, nakaabira Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange ng'ayima mu yeekalu ye, Okukaaba kwange ne kutuuka mu matu ge.