2 Samuel 22:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukka gwattunka okuva mu nnyindo ze, n'omuliro ogusenkenya ne guva mu kamwa ke, n'amanda gaawamatukamu nga gaaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, n’omuliro ne guva mu kamwa ke, n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, N'omuliro ogwava mu kamwa ke; Ne guwandula amanda agookya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukka gwanyooka mu nnyindo ze. Omuliro ogwava mu kamwa ke ne gwokya, ne gukoleeza amanda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, N'omuliro ogwava mu kamwa ke ne gwokya: Ne gukwata amanda.