2 Samuel 23:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino bye bigambo bya Dawudi ebyasembayo: “Ebigambo bya Dawudi mutabani wa Yesse, obubaka bw'omusajja eyasukkulumizibwa waggulu, omusiige wa Katonda wa Yakobo, omuyimbi wa Yisirayeli ow'ennyimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, eby’enkomerero: ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa, Ali Waggulu ennyo, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bino bye bigambo bya Dawudi eby'enkomerero. Dawudi mutabani wa Yese ayogera, Omusajja eyagulumizibwa ennyo, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, Era eyayiya zabbuli za Isiraeri ezisanyusa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye bigambo bya Dawudi ebyasembayo, kwe kwogera kwa Dawudi mutabani wa Yesse, kwe kwogera kw'omusajja Katonda gwe yagulumiza. Katonda wa Yakobo yamufukako omuzigo. Ye muyimbi ow'eggono owa Zabbuli za Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bino bye bigambo bya Dawudi eby'enkomerero. Dawudi mutabani wa Yese ayogera, Era omusajja eyagulumizibwa waggulu ayogera, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, Era asanyusa olwa zabbuli za Isiraeri: