2 Samuel 23:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye yagumirawo, n'atta Abafilisitiini okutuusa omukono gwe lwe gwakoowa, ne gukakanyalira ku kitala; Omukama ku olwo yawa obuwanguzi obw'amaanyi; abantu ne badda ewa Eleyazari, naye nga lwa kwenyagira bintu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye ye nayimirira ku bubwe n’atta Abafirisuuti, n’omukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama n’abawa obuwanguzi obw’amaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ye n'asituka n'atta Abafirisuuti, okutuusa omukono gwe lwe gwakoowa era ne gusannyalalira ku kitala. Mukama n'awa obuwanguzi obw'amaanyi ku lunaku olwo. Abaisiraeri ne bakomawo awali Ereazaali, lwa kunyaga obunyazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ye n'asituka n'atta Abafilistiya, okutuusa omukono gwe lwe gwakoowa era ne gusannyalalira ku kitala. Mukama n'awa obuwanguzi obw'amaanyi ku lunaku olwo, Abayisirayeli ne bakomawo awali Eleyazaari, lwa kunyaga bunyazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agolokoka n'atta Abafirisuuti omukono gwe ne gukoowa, omukono gwe ne gwegatta n'ekitala: Mukama n'aleeta okuwangula okunene ku lunaku olwo; abantu ne baddayo ennyuma we okunyaga obunyazi.