2 Samuel 23:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amuddirira ye Samma, mutabani wa Age Omwarari. Abafilisitiini baakuŋŋaana mu Leki mu kifo awaali ennimiro ejjudde empokya. Amagye ga Yisirayeli ne gadduka Abafilisitiini,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogw’ebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amuddirira ye Samma mutabani wa Agee Omukalali. Awo Abafirisuuti baali bakuŋŋaanidde e Lehi awali omusiri ogujjude ebijanjaalo, Abaisiraeri ne badduka Abafirisuuti abo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amuddirira ye Samma mutabani wa Agee Omuharari. Awo Abafilistiya baali bakuŋŋaanidde e Lehi awali omusiri ogujjudde ebijanjaalo, Abayisirayeli ne badduka Abafilistiya abo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Samma mutabani wa Agee Omukalali ye yamuddirira. Awo Abafirisuuti baali bakuŋŋaanye okuba ekibiina awaali omusiri ogw'ebijanjaalo; abantu ne badduka Abafirisuuti.