2 Samuel 23:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye Samma n'agumira mu nnimiro wakati, n'agitaasa, n'akuba Abafilisitiini. Omukama n'awa obuwanguzi obw'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agulwanirira, era n’atta Abafirisuuti. Mukama n’awa Abayisirayiri obuwanguzi obw’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ye n'ayimirira wakati mu musiri n'agukuuma n'atta Abafirisuuti; Mukama n'aleeta okuwangula okunene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ye Samma n'ayimirira wakati mu musiri, n'agukuuma, n'atta Abafilistiya. Mukama n'awa Yisirayeli obuwanguzi obw'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ye n'ayimirira wakati mu musiri n'agukuuma n'atta Abafirisuuti: Mukama n'aleeta okuwangula okunene.