2 Samuel 23:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ayagala okunywa amazzi, n'agamba nti: “Singa waliwo andeetera ku mazzi ag'omu kidiba ekiri okumpi n'omulyango gw'e Beteleemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ayagala okunywa ku mazzi, n'agamba nti, “Kale singa wabaddewo andeetera ku mazzi ag'okunya agava mu luzzi olw'e Besirekemu, oluli ku wankaaki!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'alumwa nnyo ennyonta, n'agamba nti: “Kale singa wabaddewo andeetera ku mazzi ag'okunywa agava mu luzzi olw'e Betilehemu, oluli ku wankaaki!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi ne yeegomba n'ayogera nti Singa wabaddewo anannywesa amazzi agava mu luzzi olw'e Besirekemu oluli ku wankaaki!