2 Samuel 23:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja abazira basatu ne bawaguza mu lusiisira lw'Abafilisitiini, ne basena amazzi mu kidiba ky'e Beteleemu ekyali okumpi n'omulyango, ne bagaleetera Dawudi. Naye n'agaana okuganywa, wabula n'agayiwa awo mu maaso g'Omukama,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja abo abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu, olwali ku wankaaki, ne bagatwalira Dawudi; naye Dawudi n'agaana okuganywako, naye n'agayiwa ku ttaka okuba ekiweebwayo eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu lusiisira lw'Abafilistiya, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Betilehemu, oluli ku wankaaki, ne bagaleetera Dawudi. Kyokka n'atakkiriza kuganywako, wabula n'agayiwa ku ttaka ng'ekiweebwayo eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abasajja abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu, olwali ku wankaaki, ne bagatwala ne bagaleetera Dawudi: naye n'atakkiriza kunywako, naye n'agafuka eri Mukama.