2 Samuel 23:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'agamba nti: “Kikafuuwe, Mukama, nze okukola kino; nze nnywe omusaayi gw'abantu bano abaatunze obulamu bwabwe?” Bw'atyo n'atayagala kunywa. Abazira abasatu ebyo bye baakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa. Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, “Kikafuuwe, ayi Mukama, nze okunywa amazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima!” Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo abasajja abasatu (3) ab'amaanyi bye baakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Kikafuuwe, ayi Mukama, nze okunywa amazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima!” Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo abasajja abasatu ab'amaanyi bye baakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Kiddire eri, ai Mukama, nze okukola kino: nnywe omusaayi gw'abasajja abagenze n'obulamu bwabwe? kyeyava agaana okunywako. Ebyo abasajja abasatu ab'amaanyi bye baakola.