2 Samuel 23:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abisayi, muganda wa Yowabu mutabani wa Zeruya, ye yali omukulu w'Abasatu. Yagalulira effumu lye abasajja ebikumi bisatu n'abatta, ne yeekolera erinnya mu Asatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu w’abasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu n’abatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, era mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasajja asatu (30) ab'amaanyi. Y'agalula effumu lye okulwana n'abasajja bisatu (300) n'abafumita n'abatta, n'aba n'erinnya mu asatu (30).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, era mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasajja amakumi asatu ab'amaanyi. Yagalula effumu lye okulwana n'abasajja ebikumi bisatu n'abafumita n'abatta, n'aba n'erinnya mu makumi asatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasatu abo. N'agalula effumu lye okulwana n'ebikumi bisatu n'abatta n'aba n'erinnya mu abo abasatu: