2 Samuel 23:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teyassibwamu ekitiibwa okusinga n'Abasatu? Yafuuka mukulu waabwe, naye teyatuuka bali Abasatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abali abasatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo n'aba nga ye asinga ekitiibwa mu bo, era n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu (3).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo n'aba nga ye asinga ekitiibwa mu bo, era n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teyali wa kitiibwa okusinga abasatu abo? kyeyava afuuka omukulu waabwe: era naye teyatuuka ku basatu abo ab'olubereberye.