2 Samuel 23:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Benaaya mutabani wa Yoyada yali musajja muzira eyakola ebingi; yali ava Kabuzeeli. Oyo yatta abasajja abazira babiri ab'e Mowabu. Era ku lunaku olw'omuzira yakkirira mu bunnya bw'oluzzi n'atta empologoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ow’e Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate n’aserengeta ne mu bunnya n’atta empologoma mu kiseera eky’obutiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omusajja omuzira ow'e Kabuzeeri, eyakola eby'amaanyi, n'atta batabani ba Aliyeri owa Mowaabu bombi; era lumu mu biseera eby'omuzira yekka mu bunnya n'atta empologoma;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Benaaya mutabani wa Yehoyaada ow'e Kabuzeeli naye yali musajja muzira. Yakola ebikolwa eby'amaanyi. Yatta abasajja Abamowaabu babiri ab'amaanyi ng'empologoma, era olumu mu biseera eby'omuzira yakka mu bunnya n'atta empologoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omusajja omuzira ow'e Kabuzeeri, eyakola eby'amaanyi, n'atta batabani ba Aliyeri wa Mowaabu bombi: era yaserengeta n'atta empologoma wakati mu bunnya mu biro eby'omuzira: