2 Samuel 23:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Benaaya, mutabani wa Yoyada, ebyo bye yakola; naye abalirwa mu Basatu abazira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira ng’abasajja bali abasatu abazira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola n'aba n'erinnya mu basatu abo ab'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo Benaaya mutabani wa Yehoyaada bye yakola, n'aba n'erinnya mu abo amakumi asatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola n'aba n'erinnya mu basatu abo ab'amaanyi.