2 Samuel 23:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ennyumba yange tenyweredde ku Katonda? Yakola nange endagaano ey'olubeerera, nnuŋŋamu mu byonna, nnywevu. Taliwa obulokofu bwange bwonna na buli kye neegomba okubala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda? Teyalagaana nange endagaano ey’enkalakkalira, n’agiteekateeka era n’aginyweza mu buli nsonga? Ekimulobera okumpa omukisa, n’okuddamu buli kye mmusaba, kiki?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima ennyumba yange bw'eri bw'etyo eri Katonda; Kubanga yalagaana nange endagaano ey'olubeerera, Eteredde mu byonna era ey'enkalakkalira; Kubanga bwe bulokozi bwange bwonna era bye nneegomba byonna, ajja kubituukiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe lityo ezzadde lyange bwe liri ne Katonda, kubanga yakola nange endagaano ey'olubeerera, eteredde mu byonna era enkakafu. Byonna eby'okunnyamba era ne bye neegomba ajja kubituukiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima ennyumba yange si bw'eri bw'etyo eri Katonda; Naye yalagaana nange endagaano eterivaawo, Eyeeteeseteese mu byonna era ey'enkalakkalira; Kubanga bwe bulokozi bwange bwonna era kye nneegomba kyonna, Newakubadde nga takikuza.