2 Samuel 23:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayagadde okugakwatako, yeeyamba kyuma oba lunyago; we gali, we gookerwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma oba olunyago lw’effumu, era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuntu agakwasaako, kyuma na lunyago lwa ffumu; ne gokerwa awo, obutasigalawo na limu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omuntu agakwasaako kyuma na lunyago lwa ffumu, ne gookerwa awo, obutasigalawo na limu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuntu agakomako Kimugwanira okubeerera ddala n'ekyuma n'olunyago lw'effumu; Era galyokerwa ddala omulizo mu kifo kyago.