2 Samuel 23:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gano ge mannya g'abasajja ba Dawudi abazira: Yosebu-Bassebeti Omutakukemoni; ye yali omukulu w'Abasatu. Effumu lye yaligalulira abantu lunaana, n'abatta mu lulwana lumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gano ge mannya ag’abasajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yosebu-Basusebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu ab’oku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulumbagana lumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gano ge mannya g'abasajja ba Dawudi abalwanyi abaatiikirivu be yalina! asooka ye Yosebubasu-sebesi Omutakemoni, omukulu w'Abasatu. Era yali ayitibwa Adino Omwezeni, kubanga yalwana n'abasajja lunaana (800) be yatta omulundi gumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gano ge mannya g'abasajja ab'amaanyi Dawudi be yalina: asooka ye Yosebu Basseebeti ow'e Takemoni, omukulu w'Abasatu. Yali ayitibwa Adino Omwezeni kubanga yalwana n'abasajja lunaana, n'abatta lumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gano ge mannya ag'abasajja ab'amaanyi Dawudi be yalina: Yosebubasusebesi Omutakemoni, omukulu w'abaami; era bwe yali bw'atyo Adino Omwezeni, eyalwana n'olunaana abattirwa awamu.