2 Samuel 23:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amuddirira ye Eleyazari, mutabani wa Dodo Omwakoki. Ali mu bazira Asatu abaali ne Dawudi e Pasi-Dammimu Abafilisitiini lwe baakuŋŋaanirayo okubatabaala bo abasajja ba Yisirayeli ne badduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakowa. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'okubiri ku basatu (3) abo ab'amaanyi ye Ereazaali, mutabani wa Dodayi, Dodayi mutabani wa Akoki. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, Abaisiraeri bonna ne badduka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Owookubiri ku basatu abo ab'amaanyi ye Eleyazaari, mutabani wa Dodo, Dodo mutabani wa Ahohi. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafilistiya abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, Abayisirayeli bonna ne badduka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ereazaali n'amuddirira mutabani wa Dodayi omwana w'Omwakoki omu ku basajja abasatu ab'amaanyi abaali ne Dawudi, bwe baasoomoza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, n'abasajja ba Isiraeri nga bagenze: