2 Samuel 24:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bw'Omukama ne buddamu okweserera ku Yisirayeli, n'abatankulira Dawudi ng'amugamba nti: “Genda obale Yisirayeli ne Yuda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’asunguwalira Isirayiri nate, n’aleetera Dawudi okubabala. Dawudi n’alagira nti, “Genda obale Isirayiri ne Yuda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama nate n'asunguwalira Isiraeri, n'apikiriza Dawudi agende abale abantu ba Isiraeri n'aba Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama era n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'akubiriza Dawudi abaleetere akabi ng'amugamba nti: “Genda obale abantu bonna ab'omu Yisirayeli ne Buyudaaya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo obusungu ne bumukwata nate Mukama eri Isiraeri, n'abaweerera Dawudi ng'ayogera nti Genda obale Isiraeri ne Yuda.