2 Samuel 24:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bwe baamala okubalibwa, omutima Dawudi ne gumuluma, n'agamba Omukama nti: “Nnyonoonye nnyo olwa kino kye nkoze. Nkwegayiridde, ayi Mukama, ggyawo ekibi ky'omuweereza wo, kubanga kye nkoze kya busiru nnyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi bwe yamala okubala abantu, omwoyo gwe ne gumuluma. Dawudi n'agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze, naye kaakano, ayi Mukama, nkwegayiridde, sonyiwa obutali butuukirivu bw'omuddu wo; kubanga nkoze eby'obusirusiru bungi nnyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi ng'amaze okubala abantu ne yeeraliikirira mu mutima, n'agamba Mukama nti: “Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze. Naye kaakano, Ayi Mukama nkwegayiridde sonyiwa ekibi kyange nze omuweereza wo. Nkoze kya busirusiru nnyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwoyo ne guluma Dawudi bwe yamala okubala abantu. Dawudi n'agamba Mukama nti Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze: naye kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, ggyawo obutali butuukirivu bw'omuddu wo; kubanga nkoze eby'obusirusiru bungi nnyo.