2 Samuel 24:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi okugenda okuzuukuka ku makya ng'ekigambo ky'Omukama kyatuuse dda ewa Gaadi omulanzi, omulabi wa Dawudi, nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu kiro ekigambo kya Mukama Katonda ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi bwe yagolokoka enkya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi, ng'akyogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gaadi omulanzi ye yali omuwi w'amagezi owa Dawudi. Dawudi bwe yazuukuka ku makya, Mukama n'agamba Gaadi nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi bwe yagolokoka enkya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi, ng'ayogera nti