2 Samuel 24:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gaadi n'ajja ewa Dawudi, n'agamba nti: “Oyagala ki kikugwire: Enjala egwire ensi yo okumala emyaka esatu? Oba omale emyezi esatu ng'odduka abalabe bo abagenda bakugoba? Oba kawumpuli agwe mu nsi yo amale ennaku ssatu? Kale weerowooze, olondeko kye nnaddiza oli antumye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Ndireeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu? Oba, ndikuddusa mu maaso g’abalabe bo okumala emyezi esatu, nga bakugoba? Oba, walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? Kirowoozeeko, ontegeeze ky’onoosalawo, nzizeeyo obubaka eri oyo antumye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gaadi n'agenda eri Dawudi n'amubuulira, n'amugamba nti, “Ku bisatu olondako kiruwa? Enjala okugwa mu nsi yo okumala emyaka musanvu (7), oba ggwe okumala emyezi esatu (3) ng'odduka abalabe bo abakuyigganya, oba okugwirwa kawumpuli mu nsi yo okumala ennaku ssatu (3)? Lowooza olondeeko kye nnaddiza oyo antumye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gaadi n'agenda eri Dawudi n'amubuulira. N'amugamba nti: “Ku bisatu olondako kiruwa? Enjala okugwa mu nsi yo okumala emyaka musanvu, oba ggwe okumala emyezi esatu ng'odduka abalabe bo abakuyigganya, oba okugwirwa kawumpuli mu nsi yo okumala ennaku ssatu? Lowooza olabe kye nnaddiza oyo antumye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi n'amubuulira n'amugamba nti Emyaka egy'enjala musanvu girikujjira mu nsi yo? Oba oliddukira emyezi esatu mu maaso g'abalabe bo, bo nga bakuyigganya? oba walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? teesa nno olowooze bwe mba mmuddamu oyo antumye.