2 Samuel 24:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Gaadi nti: “Ndiko ennaku nnyingi; naye ekisinga obulungi ka ngwe mu mikono gy'Omukama, kasita wa kisa kingi, naye tondeka kugwa mu mikono gy'abantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy’abantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri nno tugwe mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy'abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Gaadi nti: “Kaakati nsobeddwa nnyo. Wabula ka tubonerezebwe Mukama kubanga ye alina okusaasira kungi, naye nneme kubonerezebwa bantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Gaadi nti Nsobeddwa nnyo: tugwe nno mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi: ne ssigwa mu mukono gwa bantu.