2 Samuel 24:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika bwe yagololera emikono gye ku Yeruzaalemu akizikirize, Omukama n'alaba ne yeddamu ku kabi kano, n'agamba malayika eyali atta abantu nti: “Kimala! Kaakati ssa omukono gwo.” Malayika w'Omukama yali ayimiridde kumpi n'egguuliro lya Arawuna Omuyebusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olw’ekikolwa ekyo, n’agamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa Mukama Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa ekibi, n'agamba malayika eyazikiriza abantu nti, “Kinaamala.” Era malayika wa Mukama yali ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika bwe yagolola omukono gwe okuzikiriza Yerusaalemu, Mukama ne yeddamu olw'akabi ako. N'agamba malayika eyali azikiriza abantu nti: “Kinaamala, lekera awo!” Malayika yali mu gguuliro lya Arawuna Omuyebusi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa ekibi, n'agamba malayika eyazikiriza abantu nti Kinaamala; zzaayo kaakano omukono gwo. Era malayika wa Mukama yali ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.