2 Samuel 24:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yalaba malayika eyali atta abantu, n'agamba Omukama nti: “Nze nakola ekibi, nze nayonoona; bano endiga obuliga baakola ki? Nkwegayiridde, omukono gwo gukyukire nze n'ennyumba ya kitange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda eyabonereza abantu, n’ayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze eby’ekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze n’ennyumba ya kitange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi bwe yalaba malayika eyali atta n'agamba Mukama nti, “Nze nnyonoonye ne nkola eby'obubambaavu; naye abantu bano bbo bakoze ki? Nkwegayiridde bonereza nze n'abennyumba ya kitange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi bwe yalaba malayika eyali atta abantu, n'agamba Mukama nti: “Nze nnina omusango, nze nakola eby'obubambaavu, naye abantu bano bakoze ki? Nkwegayiridde, bonereza nze n'ab'omu nnyumba ya kitange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Mukama bwe yalaba malayika eyalwaza abantu n'ayogera nti Laba, nze nnyonoonye, era nze nkoze eby'obubambaavu: naye endiga zino, bakoze ki bo? nkwegayiridde, omukono gwo gulwane nange n'ennyumba ya kitange.