2 Samuel 24:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Yowabu n'abagabe b'eggye lye bonna abaali naye nti: “Muyiteeyite mu bika bya Yisirayeli byonna, okuva ku Daani okutuuka e Beeriseba, mubale abantu, mmanye omuwendo gw'abantu nga bwe gwenkana.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’alagira Yowaabu n’abaduumizi ab’eggye nti, “Mugende mu bika byonna ebya Isirayiri okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba mubale abantu, ntegeere omuwendo gwabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba Yowaabu omukulu w'eggye eyali naye nti, “Genda nno oyiteeyite mu bika bya Isiraeri byonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, mubale abantu ntegeere omuwendo gwabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Dawudi n'agamba Yowaabu omuduumizi w'eggye eyali naye nti: “Genda kaakano oyiteeyite mu Bika bya Yisirayeli byonna, okuva e Daani okutuuka e Beruseba, mubale abantu ntegeere bwe benkana obungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba Yowaabu omukulu w'eggye eyali naye nti Genda nno oyiteeyite mu bika bya Isiraeri byonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, mubale abantu ntegeere omuwendo gw'abantu.