2 Samuel 24:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Arawuna bwe yatunula wansi, n'alaba kabaka n'abaweereza be nga bajja gy'ali, n'afuluma, n'avunnamira kabaka ng'amaaso ge agatuusizza ku ttaka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alawuna n’alengera kabaka n’abasajja be nga bajja gy’ali, n’afuluma n’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Alawuna n'alengera kabaka n'abaddu be nga bajja gyali. Alawuna n'afuluma n'avuunamira kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Arawuna bwe yalengera nga kabaka n'abakungu be bajja gy'ali, n'avaayo n'avuunamira kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Alawuna n'atunula n'alaba kabaka n'abaddu be nga bajja nga bamusemberera: Alawuna n'afuluma n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.