2 Samuel 24:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Lwaki mukama wange kabaka azze ew'omuweereza we?” Dawudi n'amugamba nti: “Nzize kukugulako gguuliro lyo, nzimbirewo Omukama omwaliiro, kawumpuli agudde mu bantu akome.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alawuna n’abuuza nti, “Kiki ekireese mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n’addamu nti, “Nzize okugula egguuliro lyo, nzimbire Mukama ekyoto, kawumpuli aleke okubuna mu bantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Alawuna n'abuuza nti, “Kiki ekireese Mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n'agamba nti, “Ekindeese njagala onguze egguuliro lyo, nzimbire mu Mukama ekyoto. Kawumpuli aziyizibwe mu bantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Mukama wange kabaka, kiki ekikuleese eri omuweereza wo?” Dawudi n'agamba nti: “Ekindeese njagala onguze egguuliro lyo, nzimbiremu Mukama alutaari, kawumpuli aziyizibwe mu bantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Alawuna n'ayogera nti Mukama wange kabaka ajjiridde ki eri omuddu we? Dawudi n'ayogera nti Okugulaana naawe egguuliro; okuzimbira Mukama ekyoto, kawumpuli aziyizibwe mu bantu.