2 Samuel 24:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Arawuna n'agamba Dawudi nti: “Mukama wange kabaka alitwale, atambire nga bw'asiimye. Ente ziizo ez'ekitambiro ekyokye; ebiggo ebiwuula n'ebikoligo biibyo olw'enku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alawuna n’agamba Dawudi nti, “Mukama wange kabaka atwale kyonna ky’anaasiima akiweeyo. Ente ziizo ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ebintu ebiwuula n’ebikoligo by’ente byonna mbiwaddeyo okuba enku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Alawuna n'agamba Dawudi nti, “Mukama wange, kabaka, twala oweeyo eri Mukama buli ky'olaba nga kirungi. Ente ziizino, zibe ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebiwuula era n'amatandiiko g'ente bibeere enku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Arawuna n'agamba Dawudi nti: “Mukama wange, kabaka, twala oweeyo eri Mukama buli ky'olaba nga kirungi. Ente ziizino, zibe ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebiwuula era n'amatandiiko g'ente bibeere enku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alawuna n'agamba Dawudi nti Mukama wange kabaka atwale aweeyo by'anaasiima byonna: laba, ente ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebintu ebiwuula n'amatandiiko g'ente okuba enku: