2 Samuel 24:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi kabaka, byonna Arawuna abiwa buwi kabaka.” Era Arawuna n'agamba kabaka nti: “Omukama Katonda wo akusiime.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byonna, Alawuna abiwaddeyo eri kabaka.” Alawuna n’ayongerako nti, “Olabe ekisa mu maaso ga Mukama Katonda wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bino byonna, ayi kabaka, Alawuna abiwa kabaka.” Alawuna n'agamba kabaka nti, “Mukama Katonda wo akkirize ekiweebwayo kyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo byonna, ayi kabaka, nze Arawuna mbikuwa.” Arawuna n'ayongera okugamba kabaka nti: “Mukama Katonda wo akkirize ekitambiro ky'onoomuwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bino byonna, ai kabaka, Alawuna abiwa kabaka. Alawuna n'agamba kabaka nti Mukama Katonda wo akukkirize.