2 Samuel 24:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'agamba kabaka nti: “Omukama Katonda wo ku muwendo gw'abantu nga bwe guli kati agwongereko emirundi kikumi, ne mukama wange kabaka akyerabireko. Naye mukama wange kabaka, mu kintu kino kiki ky'ogenderedde?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yowaabu n’addamu kabaka nti, “ Mukama Katonda wo ayongere ku bantu bo emirundi kikumi n’okusingawo, nga mukama wange kabaka akyali mulamu. Naye kiki ekikukoza ekintu bwe kityo mukama wange kabaka?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu n'agamba kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu, emirundi kikumi, n'amaaso ga mukama wange kabaka gakirabe; wabula mukama wange kabaka lwaki asanyukira ekintu ekyo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu n'agamba kabaka nti: “Mukama Katonda wo ayaze abantu ba Yisirayeli, beeyongere obungi emirundi kikumi era naawe obeerabireko. Wabula, mukama wange kabaka, lwaki osanyukira ekintu ekyo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaabu n'agamba kabaka nti Mukama Katonda wo ayongere nno ku bantu, bwe benkana obungi, emirundi kikumi, n'amaaso ga mukama wange kabaka gakirabe: naye mukama wange kabaka lwaki okusanyukira ekigambo ekyo?