2 Samuel 24:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kabaka kye yagamba kye kyasinza ekya Yowabu n'abagabe b'eggye amaanyi. Yowabu n'abagabe b'eggye ne bava ewa kabaka, ne bagenda babale abantu ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ebigambo bya Yowaabu n’abaduumizi b’eggye, era ne bava mu maaso ga kabaka ne batanula okubala abantu ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ekya Yowaabu n'abakulu b'eggye. Awo Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka ne bagenda okubala abantu ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bawalirizibwa okukola ekyo kabaka kye yalagira. Bw'atyo Yowaabu n'abaduumizi b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka, ne bagenda okubala abantu ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga Yowaabu n'abakulu b'eggye. Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka okubala abantu ba Isiraeri.