2 Samuel 24:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu: mu Yisirayeli mwasangibwamu obusiriivu munaana obw'abasajja abeesobola, abakwasi b'ekitala; ate mu Yuda, obusiriivu butaano obw'abasajja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’awaayo omuwendo gw’abantu bonna eri kabaka. Mu Isirayiri mwaweramu abasajja abalwanyi emitwalo kinaana, ne mu Yuda ne muweramu abasajja abalwanyi emitwalo amakumi ataano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu be babala: mu Isiraeri mwalimu abasajja abazira abayinza okulwana obusiriivu munaana (800,000), ne mu Yuda obusiriivu butaano (500,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu be baabala. Mu Yisirayeli mwalimu abasajja emitwalo kinaana abasobola okulwana, ne mu Buyudaaya mwalimu emitwalo amakumi ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu gwe babaze: era waaliwo mu Isiraeri abasajja abazira obusiriivu munaana abaasowolanga ebitala; n'abasajja ba Yuda baali abasajja obusiriivu butaano.