2 Samuel 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi baalwanaganira ebbanga ggwanvu; Dawudi bulijjo nga yeeyongera maanyi, ennyumba ya Sawulo yo ng'egenda enafuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne wabangawo entalo wakati w’ennyumba ya Sawulo n’ennyumba ya Dawudi okumala ebbanga ddene. Dawudi n’akulaakulana, n’aba w’amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongeranga okunafuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne wabangawo obulwa bungi eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi; Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba n'amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongerayongeranga okuba ennafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abawagira ab'ennyumba ya Sawulo ne balwanagananga n'abawagizi ba Dawudi okumala ekiseera kiwanvu. Dawudi ne yeeyongeranga okuba n'amaanyi, naye abalabe be ne beeyongeranga okunafuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wabangawo obulwa bungi eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi: Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba n'amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongerayongeranga okuba ennafu.