2 Samuel 3:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abuneri n'atuma ababaka ewa Dawudi ku lulwe bamugambe nti: “Ensi ye ani?” Era bamugambe nti: “Tukole endagaano nkuyambe okuzza Yisirayeli gy'oli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abuneeri n’atumira Dawudi ababaka okumugamba nti, “Ensi y’ani? Kola endagaano nange, laba nnaafuula Isirayiri yonna okuba eyiyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago Abuneeri n'atuuma ababaka eri Dawudi okumugamba nti, “Ani nannyini nsi? Kola nange endagaano ndyoke nkuyambe okuzza Isiraeri yonna ku ludda lwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago Abuneeri n'atuma ababaka eri Dawudi okumugamba nti: “Ani nnannyini nsi? Nze ŋŋamba nti: ‘Kola endagaano nange, nja kukuyamba okuzza Yisirayeli yonna ku ludda lwo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abuneeri n'atumira Dawudi ababaka ku bubwe ye, ng'ayogera nti Nannyini nsi ye ani? era nti Lagaana nange, era, laba, omukono gwange guliba naawe okukukyukiza Isiraeri yenna.