2 Samuel 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'addamu nti: “Kirungi; nzija kukola naawe endagaano, wabula nkusaba ekintu kimu: toliraba maaso gange, wabula ng'oleese Mikali muwala wa Sawulo lw'olijja; olwo lw'olinnyimirira mu maaso.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’ayogera nti, “Kirungi. Nzija okukola endagaano naawe. Naye ekintu kimu kye nkusaba. Tojja mu maaso gange okuggyako ng’ojja ne Mikali muwala wa Sawulo, ng’ojja okundaba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'amuddamu nti, “Kale, nja kulagaana naawe, singa onookkiriza okundeetera Mikali muwala wa Sawulo ng'ojja okundaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'amuddamu nti: “Kale, nja kulagaana naawe, singa onokkiriza okundeetera Mikali muwala wa Sawulo ng'ojja okundaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Kale; ndiragaana naawe: naye waliwo ekimu kye nkussaako nga toliraba maaso gange, bw'otolimala kuleeta Mikali muwala wa Sawulo, bw'olijja okulaba amaaso gange.