2 Samuel 3:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'atuma ababaka ewa Yisi-Boseti mutabani wa Sawulo ng'agamba nti: “Komyawo mukazi wange Mikali gwe nayogereza n'obuliba kikumi obw'Abafilisitiini.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’atumira Isubosesi mutabani wa Sawulo ababaka ng’agamba nti, “Mpa mukyala wange Mikali gwe nayogereza n’ebikuta ekikumi eby’Abafirisuuti.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'atuuma ababaka eri Isubosesi mutabani wa Sawulo ng'agamba nti, “Mpa mukazi wange Mikali gwe nnaasasulira ebikuta ekikumi (100) eby'Abafirisuuti.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'atuma ababaka eri Yisiboseti mutabani wa Sawulo ng'agamba nti: “Mpa mukazi wange Mikali gwe nasasulira ensusu ekikumi ez'Abafilistiya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'atumira Isubosesi mutabani wa Sawulo ababaka ng'ayogera nti Mpa mukazi wange Mikali gwe nnayogereza n'ebikuta ekikumi eby'Abafirisuuti.