2 Samuel 3:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bbaawe yamugoberera nga bw'agenda akaaba okutuukira ddala e Bakurimu. Abuneri n'amugamba nti: “Genda, ddayo.” Naye n'addayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bba we n’abagoberera, nga bw’akaaba okutuukira ddala, e Bakulimu. Abuneeri n’amugamba nti, “Ddayo eka. N’addayo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Palutieri n'agenda ng'akaaba, n'awondera Mikali okutuuka mu kibuga Bakulimu. Abuneeri n'agamba Palutieri nti, “Genda, ddayo eka.” Awo n'addayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Palutiyeli n'agenda ng'akaaba, n'awondera Mikali okutuuka mu kibuga Bahurimu. Abuneeri n'agamba Palutiyeli nti: “Genda, ddayo eka.” Awo n'addayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bba n'agenda naye ng'agenda ng'akaaba, n'amugoberera e Bakulimu. Awo Abuneeri n'amugamba nti Genda oddeyo: n'addayo.