2 Samuel 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abuneri yayogeraganyaamu n'abakadde mu Yisirayeli, n'abagamba nti: “Ebbanga lino lyonna mubadde mwegomba Dawudi abeere kabaka wammwe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abuneeri n’ateesa n’abakadde ba Isirayiri, n’abagamba nti, “Mumaze ebbanga nga mwagala okufuula Dawudi kabaka wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abuneeri n'ateesa n'abakadde ba Isiraeri ng'ayogera nti, “Mu biro eby'edda mwayagala Dawudi okuba kabaka wammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abuneeri n'ayogera n'abakulembeze ba Yisirayeli ng'agamba nti: “Mumaze ebbanga nga mwagala Dawudi afuuke kabaka wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abuneeri n'ateesa n'abakadde ba Isiraeri ng'ayogera nti Mu biro eby'edda mwayagala Dawudi okuba kabaka wammwe: