2 Samuel 3:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nno kati mumufuule, kubanga Omukama yasuubiza Dawudi nti: ‘N'omukono gw'omuweereza wange Dawudi, ndinunula abantu bange Yisirayeli mu mikono gy'Abafilisitiini n'egy'abalabe baabwe bonna.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano mukituukirize, kubanga Mukama yasuubiza Dawudi nti, ‘Ndirokola abantu bange Isirayiri okuva mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna, nga nkozesa omuddu wange Dawudi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale kaakano mukikole, kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti, ‘Mu mukono gw'omuddu wange Dawudi mwendirokolera abantu bange Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gw'abalabe baabwe bonna.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano mukituukirize, kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti: ‘Ŋŋenda kukozesa omuddu wange Dawudi okununula abantu bange Abayisirayeli mu mikono gy'Abafilistiya n'egy'abalabe baabwe bonna.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale nno kaakano mukikole: kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti Mu mukono gw'omuddu wange Dawudi bwe ndirokola abantu bange Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gw'abalabe baabwe bonna.