2 Samuel 3:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abuneri era n'ayogeraganyaamu n'Ababenyamiini. N'agenda n'abuulira Dawudi mu Keburoni byonna Yisirayeli ne Benyamiini yenna bye baali basemba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abuneeri n’agenda n’eri Ababenyamini n’ayogera nabo, n’oluvannyuma n’agenda n’ategeeza Dawudi e Kebbulooni, ebyo byonna Isirayiri n’ennyumba ya Benyamini bye baasalawo okukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abuneeri era n'ayogera n'Ababenyamini n'alyoka agenda e Kebbulooni okutegeeza Dawudi Ababenyamini n'Abaisiraeri bonna kye basazeewo okukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abuneeri era n'ayogera n'Ababenyamiini, n'alyoka agenda mu Heburooni okutegeeza Dawudi, Ababenyamiini n'Abayisirayeli bonna kye basazeewo okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abuneeri n'ayogera ne mu matu ga Benyamini: era Abuneeri n'agenda okwogera ne mu matu ga Dawudi e Kebbulooni byonna Isiraeri n'ennyumba yonna eya Benyamini bye baasiima.