2 Samuel 3:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kadde ako abasajja ba Dawudi ne Yowabu ne badda nga bava okwaya; baalina omunyago munene. Abuneri teyali na Dawudi mu Keburoni, kubanga yali amaze okumusiibula, ng'agenze mu ddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ba Dawudi ne bakomawo ne Yowaabu, nga baleese omunyago munene ddala. Naye we baakomerawo nga Abuneeri takyali ne Dawudi e Kebbulooni, kubanga yali amusiibudde agende mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kaseera ako, Yowaabu n'abaweereza ba Dawudi abalala, ne bakomawo okuva mu kikwekweto nga bazze n'omunyago mungi. Kyokka baasanga Abuneeri takyali na Dawudi mu Kebbulooni, kubanga Dawudi yali amusiibudde, era Abuneeri ng'agenze mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kaseera ako, Yowaabu n'abaweereza ba Dawudi abalala, ne bakomawo okuva mu kikwekweto nga bazze n'omunyago mungi. Kyokka baasanga Abuneeri takyali na Dawudi mu Heburooni, kubanga Dawudi yali amusiibudde, era Abuneeri ng'agenze mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, laba, abaddu ba Dawudi ne Yowaabu ne bakomawo okukwekweta, ne baleeta nabo omunyago omungi: naye Abuneeri teyali ne Dawudi e Kebbulooni; kubanga yali amusindise, naye ng'agenze mirembe.