2 Samuel 3:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'eggye lyonna bwe baakomawo, abantu ne babuulira Yowabu nti: “Abuneri mutabani wa Neri yazze ewa kabaka, era yamusiibudde n'agenda mu ddembe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’eggye lyonna bwe baatuuka, Yowaabu n’ategeezebwa nga Abuneeri mutabani wa Neeri bwe yazze eri kabaka, naye kabaka n’amusiibula, n’agenda mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu n'eggye lyonna eryali naye bwe baatuuka, ne babuulira Yowaabu nti, “Abuneeri mutabani wa Neeri yazze eri kabaka, era yamusiibudde mirembe”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu bwe yatuuka awamu n'eggye lyonna eryali naye, ne bamubuulira nti Abuneeri mutabani wa Neeri, yazze ewa kabaka Dawudi era Dawudi n'amusiibula n'agenda mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu n'eggye lyonna eryali naye bwe baatuuka, ne babuulira Yowaabu nti Abuneeri mutabani wa Neeri yazze eri kabaka, era yamusindise, era yagenze mirembe.