2 Samuel 3:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'agenda ewa kabaka n'agamba nti: “Wakoze ki kino? Abuneri mutabani wa Neri yazze gy'oli; lwaki watadde mute? Kati wuuyo agenze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, “Wakoze ki ekyo, okuleka Abuneeri n’agenda?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu n'agenda eri kabaka Dawudi n'amugamba nti, “Okoze ki kino! Abuneeri okujja gy'oli n'amuleka n'agenda bugenzi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu n'agenda ewa kabaka Dawudi n'amugamba nti: “Okoze ki! Abuneeri okujja gy'oli n'omuleka n'agenda?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'ayogera nti Okoze ki? laba, Abuneeri yazze gy'oli; wamusindikidde ki, era agendedde ddala?