2 Samuel 3:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abuneri mutabani wa Neri tomumanyi? Ekyamuleese kukulimbalimba, alabe enfuluma n'ennyingira yo, amanye na byonna by'okola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okimanyi nga Abuneeri mutabani wa Neeri, yazze okukubuzaabuza, n’okuketta ennyingira yo n’enfuluma yo, ne byonna by’okola?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmanya nga Abuneeri mutabani wa Neeri yazze kukulimba, n'okumanya bw'ofuluma ne bw'oyingira n'okumanya byonna by'okola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omanyi bulungi nga Abuneeri mutabani wa Neeri yazze kukulimbalimba amanye byonna by'okola n'amakubo g'okwata?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omanyi Abuneeri mutabani wa Neeri ng'azze okukulimba n'okumanya bw'ofuluma n'oyingira n'okumanya byonna by'okola: