2 Samuel 3:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'afuluma n'ava awali Dawudi, n'atuma ababaka bagoberere Abuneri, ne bamukomyawo okumuggya ku luzzi lw'e Sira. Dawudi teyakimanyaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’ava mu maaso ga Dawudi, n’atuma ababaka okugoberera Abuneeri, era ne bamukomyawo okuva ku luzzi lwa Siira, naye Dawudi n’atakimanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu bwe yava ewa Dawudi n'atuma ababaka okugoberera Abuneeri, ne bamusanga ku luzzi lwa Siira ne bamukomyawo naye nga Dawudi tamanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu bwe yava ewa Dawudi n'atuma ababaka bawondere Abuneeri, era ne bamukomyawo okuva ku luzzi lwe Siira, naye kino Dawudi teyakimanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu bwe yafuluma okuva eri Dawudi, n'atuma ababaka okugoberera Abuneeri, ne bamukomyawo okuva ku luzzi lwa Siira: naye Dawudi n'atakimanya.