2 Samuel 3:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abuneri bwe yakomawo mu Keburoni, Yowabu n'amuzza ku mabbali mu makkati g'omulyango abeere ng'ayogera naye mu kyama, awo we yamufumitira ekiso mu lubuto, n'afa. Yakikola okuwoolera eggwanga olw'omusaayi gwa muganda we Asaweli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abuneeri bwe yakomawo e Kebbulooni, Yowaabu n’amutwala ku bbali w’omulyango, ne yeefuula ng’ayogera naye mu kyama, n’amufumita mu lubuto n’afa. Ekyo Yowaabu y’akikola okumusasula olw’omusaayi gwa Asakeri muganda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abuneeri bwe yakomawo mu Kebbulooni, Yowaabu n'amuzza ku bbali w'omulyango, n'aba ng'ayagala okumukuba akaama. Bwe baali awo, n'amufumita olubuto n'amutta, kubanga Abuneeri yali asse Asakeri muganda we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abuneeri bwe yakomawo mu Heburooni, Yowaabu n'amuzza ku bbali w'omulyango, n'aba ng'ayagala okumukuba akaama. Bwe baali bali awo, n'amufumita mu lubuto n'amutta, kubanga Abuneeri yali asse Asayeeli muganda we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abuneeri bwe yakomawo e Kebbulooni, Yowaabu n'amwawulamu n'amutwala mu mulyango wakati okwogera naye mu kyama, n'amufumitira eyo olubuto, n'afa, olw'omusaayi gwa Asakeri muganda we.