2 Samuel 3:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yakimanyaako oluvannyuma n'agamba nti: “Nze n'obwakabaka bwange tetuliiko musango emirembe gyonna mu maaso g'Omukama olw'omusaayi gwa Abuneri, mutabani wa Neri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira, n’ayogera nti, “Nze n’obwakabaka bwange tetulivunaanibwa ennaku zonna mu maaso ga Mukama olw’omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira n'ayogera nti, “Nze n'obwakabaka bwange tetuliiko musango mu maaso ga Mukama ennaku zonna ogw'omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira, n'agamba nti: “Ennaku zonna mu maaso ga Mukama, nze n'ab'omu bwakabaka bwange tetuubengako musango ogw'okutta Abuneeri mutabani wa Neeri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira n'ayogera nti Nze n'obwakabaka bwange tetuliiko musango mu maaso ga Mukama ennaku zonna ogw'omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri: