2 Samuel 3:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusaayi gwe gubeere ku mutwe gwa Yowabu ne ku nnyumba ya kitaawe yonna. Mu nnyumba ya Yowabu temuggwanga alina kikulukuto ky'amazzi, mugenge, eyesimbaggiriza ku muggo, afa ekitala, n'atalina mmere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusaayi gwe gubeerenga ku mutwe gwa Yowaabu ne ku nnyumba ya kitaawe, era mu nnyumba ya Yowaabu mulemenga okubulamu omuziku newaakubadde omugenge, newaakubadde omulema newaakubadde alifa n’ekitala, newaakubadde alibulwa emmere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
gubeerenga ku Yowaabu n'abennyumba ya kitaawe yonna! Era mu buli mulembe gwonna, mu nnyumba ya Yowaabu mubengamu omulwadde w'enziku, omugenge, omulema, attirwa mu lutalo, oba abulwa emmere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gubeerenga ku Yowaabu n'ab'ennyumba ya kitaawe yonna! Era mu buli mulembe gwonna, mu nnyumba ya Yowaabu mubengamu omulwadde w'enziku, oba ow'ebigenge, oba omulema, oba attirwa mu lutalo, oba abulwa emmere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
gugwe ku mutwe gwa Yowaabu ne ku nnyumba yonna eya kitaawe; so mu nnyumba ya Yowaabu temubulanga muziku oba mugenge oba eyeesigama ku muggo oba agwa n'ekitala oba abulwa emmere.