2 Samuel 3:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Yowabu n'abantu bonna abaali naye nti: “Muyuze ebyambalo byammwe, mwesibe ebikutiya, mukungubage nga mukulembeddemu Abuneri.” Ye kabaka Dawudi yajja avaako emabega w'olunnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba Yowaabu n’abantu bonna abaali naye nti, “Mwambale ebibukutu, mukungubagire mu maaso ga Abuneeri.” Kabaka Dawudi yennyini n’atambulira emabega w’essanduuko omwali omulambo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba Yowaabu n'abantu bonna nti, “Muyuze engoye zammwe, mwesibe ebibukutu, mukungubagire Abuneeri.” Kabaka Dawudi n'agoberera olunnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'alagira Yowaabu ne basajja be bonna abaali naye, bayuze ebyambalo byabwe, bambale ebikutiya, bakungubagire Abuneeri. Kabaka Dawudi yennyini n'avaako emabega w'akatanda okusituliddwa omulambo nga bagenda okuguziika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Yowaabu n'abantu bonna abaali naye nti Muyuze engoye zammwe mwesibe ebibukutu mukaabe mu maaso ga Abuneeri. Kabaka Dawudi n'agoberera olunyo.